1 Corinthians 4

Abatume ba Kristo

1 aOmuntu asaanidde atulabe ng’abaweereza ba Kristo era abawanika b’ebyama bya Katonda. 2Ate era omuwanika kimugwanira okuba omuntu omwesigwa. 3Naye gye ndi ekyo kintu kitono nnyo mmwe okunsalira omusango oba omuntu yenna ku lunaku olw’okusalirako omusango; nange sseesalira musango. 4 bKubanga nze seemanyiiko nsonga yonna, wabula ekyo tekimpeesa butuukirivu, naye ansalira omusango ye Mukama waffe. 5 cNoolwekyo temusalanga musango ekiseera nga tekinnatuuka okutuusa Mukama waffe lw’alijja, alimulisa ebyakwekebwa eby’ekizikiza, n’ayolesa n’ebigendererwa by’omutima, buli muntu n’alyoka atendebwa Katonda.

6 dKaakano abooluganda ebintu ebyo mbigeredde ku nze ne ku Apolo ku lwammwe, mulyoke muyigire ku ffe obutasukkanga ku byawandiikibwa, omuntu omu alemenga okwegulumiza ng’anyooma omulala. 7 eKubanga ani akwawula? Era mulina kye mutaaweebwa? Kale obanga ddala mwaweebwa, kiki ate ekibenyumirizisa ng’abataakifuna? 8 fMwakkuta dda n’okugaggawala ne mugaggawala, era ne mufuuka bakabaka awatali ffe; naye nandyagadde mufuuke bakabaka, naffe tulyoke tufuukire wamu bakabaka nammwe. 9 gKubanga ndowooza nga ffe abatume, Katonda yatuteeka ku nkomerero ng’abasibe abalindirira okuttibwa, kubanga twafuulibwa ekyerolerwa eri ensi, eri bamalayika n’eri abantu. 10 hTuli basirusiru ku bwa Kristo, naye mmwe muli bagezi mu Kristo; Ffe tuli banafu naye mmwe muli ba maanyi! Mmwe muli ba kitiibwa naye ffe tunyoomebwa. 11 iEra ne mu kiseera kino tulumwa enjala n’ennyonta nga tetulina na kyakwambala, tukubibwa era tubungeeta bubungeesi. 12 jTutegana nga tukola emirimu n’emikono gyaffe; tusabira emikisa abo abatukolimira; bwe tuyigganyizibwa tugumiikiriza; 13 kabo abatuvuma tubaddamu ne gonjebwa. Era n’okutuusa kaakano tuli ng’ebisooto mu bigere era tuli ng’ebisaaniiko.

14 lSiwandiika bintu bino lwa kubaswaza naye lwa kubabuulirira ng’abaana bange abaagalwa. 15 mKubanga newaakubadde mulina abalala nkumi na nkumi ababayigiriza ebya Kristo, naye mujjukirenga nga mulina bakitammwe batono. Kubanga nze mbazaala mu Kristo olw’enjiri. 16 nNoolwekyo mbongeramu amaanyi mulabire ku nze. 17 oKyennava mbatumira Timoseewo omwana wange omwesigwa era omwagalwa mu Mukama waffe, anaabajjukizanga ebyo bye ngoberera mu Kristo Yesu nga bwe njigiriza wonna wonna mu buli Kkanisa.

18Naye waliwo abamu mu mmwe abeekuluntaza nga balowooza nti sigenda kujja gye muli. 19 pNaye nzija mangu, Mukama bw’anaasiima ndyoke mmanye amaanyi g’abo abeekuluntaza so si mu bigambo obugambo. 20Kubanga obwakabaka bwa Katonda tebuli mu kwogera bwogezi, wabula mu maanyi. 21 qKiruwa kye mwagala? Nzije n’omuggo, oba nzije na kwagala n’omwoyo ogw’obuwombeefu?

Copyright information for LugEEEE